Revelation 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wakati mu bikondo by'ettawaaza nga waliwo afaanana ng'Omwana w'Omuntu, ng'ayambadde ekizibawo ekikka okutuuka ku bigere, nga yeesibye omusipi ogwa zaabu mu kifuba;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ng’Omwana w’Omuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne wakati w'ebikondo by'ettaala ne ndaba afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ayambadde okutuuka ku bigere, era ng'asibiddwa mu kifuba olukoba olwa zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wakati w'ebikondo ebyo, ne ndaba afaanana ng'Omwana w'Omuntu, ng'ayambadde ekyambalo ekituukira ddala ku bigere, era nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne wakati w'ettabaaza ne ndaba afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ayambadde okutuuka ku bigere, era ng'asibiddwa mu kifuba olukoba olwa zaabu.