Revelation 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mukono gwe ogwa ddyo yalinamu emmunyeenye musanvu; mu kamwa ke nga muvaamu ekitala ekyogi ku njuuyi zombi; amaaso ge nga gali ng'enjuba eyaka n'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu, ne mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, n'obwenyi bwe nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu. Mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekyogi ku njuuyi zaakyo zombiriri. Obwenyi bwe nga buli ng'enjuba eyaka n'amaanyi gaayo gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu: ne mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri: n'obwenyi bwe nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo.