Revelation 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe namulaba, ne ngwa ku bigere bye nga ndi ng'omufu; kyokka ye n'anzisaako omukono gwe ogwa ddyo, n'agamba nti: “Totya, nze Mubereberye, nze Muvannyuma;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnamulaba, ne ngwa ku bigere ne mba ng'afudde. N'anteekako omukono gwe ogwa ddyo, ng'ayogera nti, “Totya, nze Owolubereberye era Owenkomerero,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe namulaba, ne ngwa okumpi n'ebigere bye, nga ndi ng'afudde. Kyokka n'ankwatako n'omukono gwe ogwa ddyo, n'agamba nti: “Totya, nze w'olubereberye era ow'enkomerero,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnamulaba, ne ngwa ku bigere bye ng'afudde. N'anteekako omukono gwe ogwa ddyo, ng'ayogera nti Totya; nze w'olubereberye era ow'enkomerero,