Revelation 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyama ekiri mu mmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ebikondo bya zaabu omusanvu kye kino: emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'Ekleziya omusanvu, ate ebikondo omusanvu ze Ekleziya omusanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ka nkubuulire amakulu g’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era n’ebikondo eby’ettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’Ekkanisa omusanvu, ate ebikondo by’ettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyama ky'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ebikondo by'ettaala omusanvu ebya zaabu n'emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ekkanisa omusanvu n'ebikondo by'ettaala ze kkanisa omusanvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amakulu g'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, n'ag'ebikondo by'ettaala omusanvu ebya zaabu, ge gano: emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ebibiina omusanvu eby'abakkiriza Kristo, ate ebikondo omusanvu eby'ettaala, bye bibiina omusanvu eby'abakkiriza Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekyama ky'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ettabaaza omusanvu eza zaabu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ekkanisa omusanvu: n'ettabaaza omusanvu ze kkanisa omusanvu.