Revelation 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Yowanna, eri Ekleziya omusanvu eziri mu Aziya: Eneema ebeere nammwe ko n'emirembe okuva eri Oyo aliwo, eyaliwo era ajja, era n'okuva eri emyoyo omusanvu egiri awo mu maaso ga nnamulondo ye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya. Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: Ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g'entebe ye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowanne awandiikira ebibiina omusanvu eby'abakkiriza Kristo ebiri mu Asiya. Ekisa kya Katonda n'emirembe bibeerenga nammwe, nga biva eri Katonda abaawo, era eyabaawo, era ajja okubaawo; era nga biva eri emyoyo omusanvu, egiri mu maaso g'entebe ye ey'obwakabaka;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g'entebe ye;