Revelation 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'okuva eri Yezu Kristu, Omujulirwa omwesigwa, omuggulanda w'abaafa, era afuga bakabaka b'ensi. Oyo atwagala, eyatusumulula mu bibi byaffe n'omusaayi gwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era nga biva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, eyasooka bonna okuzuukira, era afuga bakabaka ab'oku nsi. Kristo oyo atwagala era eyatuggya mu bibi byaffe bwe yatufiirira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe;