Revelation 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuyo ajjira mu bire; buli liiso lijja kumulaba, na buli eyamufumita. Ebika by'ensi byonna biritema emiranga olw'okubeera ye. Bwe kiriba kityo. Amiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ajja n’ebire, na buli liiso lirimulaba, n’abaamufumita balimulaba, era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira. Weewaawo. Amiina!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ajja n'ebire, era buli liiso lirimulaba, n'abo abaamufumita; n'ebika byonna eby'omu nsi birimukubira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wuuyo ajjira ku bire. Abantu bonna balimulaba, era n'abo abaamufumita balimulaba. Abantu bonna ku nsi balikuba ebiwoobe ku lulwe. Ky'ekyo. Amiina. Zek 12:10; Yow 19:34,37
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ajja n'ebire era buli liiso lirimulaba, n'abo abaamufumita; n'ebika byonna eby'omu nsi birimukubira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina.