Revelation 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze Alufa ne Omega,” Omukama Katonda y'agamba, oyo aliwo, eyaliwo era alijja, Omuyinza wa buli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nze Alufa ne Omega,” bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nze Alufa ne Omega, Owolubereberye, era Owenkomerero” bw'ayogera Mukama Katonda, “abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ntandikwa era “Nze nkomerero ya byonna,” bw'atyo bw'agamba Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna, abaawo, era eyabaawo, era ajja okubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze ndi Alufa ne Omega, bw'ayogera Mukama Katonda, abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna.