Revelation 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Yowanna, muganda wammwe, agabana nammwe mu Yezu Kristu ku kubonaabona, ku bwakabaka ne ku kugumiikiriza, nali mu kizinga ekiyitibwa Patumo olw'okubeera ekigambo kya Katonda n'olw'okujulira Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Yokaana, muganda wammwe, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okujulira ebya Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Yowanne, muganda wammwe, agabana awamu nammwe ku kubonaabona, ne ku Bwakabaka era ne ku kugumiikiriza, ebiri mu Yesu. Nali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'okuba nga nali ntegeezezza abantu ekigambo kya Katonda, era nga mbategeezezza ebifa ku Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze Yokaana muganda wammwe era assa ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okutegeeza kwa Yesu.