Revelation 10:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akkirira ava mu ggulu, ayambadde ekire, ku mutwe gwe nga kuliko musoke, amaaso ge nga gali ng'enjuba, amagulu ge nga gali ng'empagi z'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba malayika omulala ow’amaanyi ng’akka okuva mu ggulu nga yeetooloddwa ekire, ng’ayambadde musoke ku mutwe gwe; amaaso ge nga gaakaayakana ng’enjuba ate ebigere bye nga byaka ng’omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge nga galinga enjuba, n'ebigere bye nga biringa empagi ez'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi, nga ava mu ggulu, ng'akka. Yali ayambadde ekire, ku mutwe gwe nga kuliko musoke; amaaso ge nga gali ng'enjuba, n'ebigere bye, nga biri ng'empagi ez'omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba malayika omulala ow'amaanyi ng'akka okuva mu ggulu, ng'ayambadde ekire; ne musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaaso ge ng'enjuba, n'ebigere bye ng'empagi ez'omuliro;