Revelation 10:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baŋŋamba nti: “Oli wa kuddamu buto okulanga eri amawanga mangi, n'abantu bangi, n'ennimi nkumu ne bakabaka bangi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okuwa obunnabbi nate ku mawanga, n’ensi, n’ennimi ne bakabaka bangi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baŋŋamba nti, “Kikugwanidde okubuulira nate abantu bangi n'amawanga n'ennimi ne bakabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika n'aŋŋamba nti: “Oteekwa okuddamu okulanga ebyo ebiriba ku bantu abangi, ne ku mawanga, ne ku nnimi, ne ku bakabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baŋŋamba nti Kikugwanidde okubuulira nate eri abantu n'amawanga n'ennimi ne bakabaka abangi.