Revelation 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mukono gwe yalinamu akatabo nga kabikkule; ekigere kye ekya ddyo n'akisimba ku nnyanja, ate ekya kkono ku lukalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali alina mu ngalo ze omuzingo gw’ekitabo omutono ng’agwanjuluzza, n’ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja ate ekya kkono n’akiteeka ku lukalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yalina mu mukono gwe omuzingo omutono ng'agwanjuluzza, n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku lukalu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalina mu ngalo ze omuzingo gw'akatabo, nga mubikkule. Ekigere kye ekya ddyo n'akiteeka ku nnyanja, ekya kkono n'akiteeka ku lukalu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era yalina mu mukono gwe akatabo akabikkuse: n'ateeka ekigere kye ekya ddyo ku nnyanja n'ekya kkono ku nsi;