Revelation 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eraddu omusanvu bwe zaamala okwogera, nali ŋŋenda nti okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Eraddu omusanvu bye zigambye bisirikire, tobiwandiika.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera, nnali n’atera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eryava mu ggulu nga ligamba nti, “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali n'atera okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti, “Teeka envumbo ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggulu bwe lyabwatuka emirundi omusanvu, nali ŋŋenda okuwandiika, ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Ebyo eggulu eribwatuse emirundi omusanvu bye lyogedde, bikuume nga bya kyama, era tobiwandiika.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ŋŋenda okuwandiika: ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.