Revelation 10:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'alayira Oyo abeera omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu ne byonna ebiririmu, n'ensi na byonna ebigirimu, n'ennyanja, na byonna ebigirimu, nti: “Tekyaliyo kadde kalala;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu n’ebintu byonna ebirimu, n’atonda n’ensi n’ebintu byonna ebigirimu, n’atonda n’ennyanja ne byonna ebigirimu, ng’agamba nti, “Tewaliba kulwa nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti, tewaliba kulwa nate,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'alayira Katonda Nnannyinibulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu ne byonna ebirimu, n'ensi ne byonna ebirimu, n'ennyanja ne byonna ebirimu. Malayika oyo n'agamba nti: “Tewakyali kulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'alayira oli aba omulamu emirembe n'emirembe, eyatonda eggulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'ennyanja n'ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate: