Revelation 10:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula mu nnaku ezo malayika owoomusanvu bw'alikoowoola, olwo ekyama kya Katonda kigenda kutuukirizibwa, nga bwe yakirangirira eri abaweereza be abalanzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu nnaku ez’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba anaatera okufuuwa ekkondeere, ekyama kya Katonda kiribikkulwa, nga bwe yabuulira abaddu be, bannabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba anaatera okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'Enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu kiseera ekyo, malayika ow'omusanvu ky'alifuuyiramu eŋŋombe ye, Katonda alituukiriza ekyama kye, nga bwe yategeeza abaweereza be abalanzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu nnaku z'eddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'aliba ng'agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira, ng'enjiri bw'eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.