Revelation 10:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate eddoboozi lye nali mpulidde okuva mu ggulu ne lyogera nange nate, nga ligamba nti: “Genda okwate ekitabo ekibikkule ekiri mu ngalo za malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne liddamu ne liŋŋamba nti, “Twala omuzingo gw’ekitabo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne liŋŋamba nti, “Genda, otwale omuzingo nga mubikkule okuva mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi lye nawulira nga liva mu ggulu, ne nziramu okuliwulira nga liŋŋamba nti: “Genda okwate omuzingo omwanjuluze, oguli mu ngalo za malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku lukalu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eddoboozi lye nnawulira nga liva mu ggulu, ne ndiwulira nate nga lyogera nange ne ligamba nti Genda, otwale ekitabo ekibikkuse mu mukono gwa malayika ayimiridde ku nnyanja ne ku nsi.