Revelation 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋenda eri malayika, ne mmugamba okumpa akatabo. N'aŋŋamba nti: “Kakwate, kalye. Kajja kukukaayirira mu lubuto lwo, naye mu kamwa kajja kuwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ŋŋenda eri malayika ne mugamba ampe omuzingo gw’ekitabo ogwo omutono. N’aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; mu kamwa ko guliwoomerera ng’omubisi gw’enjuki, naye guligulumbya olubuto lwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ŋŋenda eri malayika, ne mugamba okumpa omuzingo. N'aŋŋamba nti, “Gutwale ogulye; gunaakaawa mu lubuto lwo, naye mu kamwa ko gunaaba guwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋenda eri malayika, ne mmusaba ampe omuzingo gw'akatabo. N'aŋŋamba nti: “Gukwate ogulye. Gujja kukukaayirira mu lubuto lwo, naye mu kamwa ko, gujja kuwoomerera ng'omubisi gw'enjuki.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ŋŋenda eri malayika, nga mmugamba okumpa akatabo. N'aŋŋamba nti Twala, okamire; era kanaakaaya olubuto lwo, naye mu kamwa ko kanaaba kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki.