Revelation 11:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ab'omu nsi balyekulisa okubeera bo, ne basanyuka ne baweerezagana ebirabo, kubanga abalanzi abo ababiri baalabisa ennaku abantu abali ku nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza n’okuweerezagana ebirabo, n’okwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ab'oku nsi balisanyuka olw'okufa kw'abo bombi. Balijaguza, era baliweerezaganya ebirabo, kubanga abalanzi abo ababiri baabonyaabonya nnyo ab'oku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi.