Revelation 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bawulira eddoboozi eddene nga liva mu ggulu nga libagamba nti: “Mwambuke eno!” Ne bagendera mu kire, ne balinnya mu ggulu abalabe baabwe nga balaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bawulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mulinnye mujje wano.” Ne balinnya mu kire okugenda mu ggulu ng’abalabe baabwe babalaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga libagamba nti, “Mulinnye okutuuka wano.” Ne balinnya mu ggulu mu kire; n'abalabe baabwe ne ba balaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi abo ababiri ne bawulira eddoboozi ery'omwanguka eriva mu ggulu nga libagamba nti: “Mujje eno!” Ne balinnya mu ggulu nga bagendera mu kire, ng'abalabe baabwe balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga libagamba nti Mulinnye okutuuka wano. Ne balinnya mu ggulu mu kire; n'abalabe baabwe ne babalaba.