Revelation 11:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kabanga ako ne wasituka musisi ow'amaanyi, ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; abantu kasanvu ne battibwa mu musisi oyo, abaasigalawo ne batya, ne batendereza Katonda ow'eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ssaawa eyo y’emu ne wabaawo musisi eyasuula ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ekibuga, era abantu kasanvu ne bafa. Abaawona baatya nnyo era ne bagulumiza Katonda ow’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu ssaawa eri ne wabaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; ne battibwa abantu kasanvu (7,000) mu kikankano: n'abo abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kaseera ako kennyini, ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi. Ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kizikirira, n'abantu kasanvu ne battibwa okukankana kw'ensi. Abantu abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne batendereza ekitiibwa kya Katonda ow'omu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu ssaawa eri ne wabaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ekibuga ne kigwa; ne battibwa abantu kasanvu mu kikankano: n'abo abaasigalawo ne bakwatibwa entiisa, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu ggulu.