Revelation 11:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne malayika owoomusanvu n'afuuwa ekkondeere; mu ggulu ne wasituka amaloboozi agoogerera waggulu nga gagamba nti: “Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwakabaka bwa Mukama waffe ne Kristu we, ajja kulamula emirembe n'emirembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe n’emirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti, “Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we, era anaafuganga emirembe n'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika ow'omusanvu n'afuuwa eŋŋombe ye. Ne wabaawo amaloboozi ag'omwanguka, nga gagamba nti: “Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe era bwa Kristo, era anaafuganga emirembe n'emirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n'emirembe.