Revelation 11:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bagamba nti: “Tukwebaza, ayi Mukama Katonda, Omuyinza wa buli kantu, aliwo era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obukulu n'olamula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bagamba nti, “Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna, ggwe aliwo kati era eyaliwo, kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo, Era ofuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga boogera nti, “Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, abaawo era eyabaawo, kubanga otutte amaanyi go amangi, n'ofuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bwe bagamba nti: “Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna, abaawo era eyabaawo, tukwebaza, kubanga weddizza obuyinza bwo n'otandika okufuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga boogera nti Tukwebaza, ggwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go amangi, n'ofuga.