Revelation 11:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga gaasunguwala, naye naawe obusungu bwo butuuse, era n'akadde k'abafu balamulibwe, oweere empeera abaweereza bo, abalanzi n'abatuukirivu, n'abatya erinnya lyo, abatene n'abanene, osaanyeewo abo abasaanyaawo ensi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga gaakunyiigira, naye kaakano naawe ky’ekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo era ky’ekiseera okusalira abo abaafa omusango, n’okuwa empeera abaweereza bo bannabbi, n’abatukuvu bo, n’abo abatya erinnya lyo abakulu n’abato, n’okuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bujja, n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu, n'ez'okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu, n'abatya erinnya lyo, abato n'abakulu; n'ez'okwonooneramu aboonoona ensi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ab'ensi baasunguwala nnyo. Naye n'obusungu bwo ne bujja; obudde ne butuuka okusalira abafu omusango, n'okuwa empeera abaweereza bo abalanzi, n'abantu bo bonna abakulu n'abato abakussaamu ekitiibwa. Era obudde ne butuuka okusaanyaawo abo abazikiriza ensi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bujja, n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu, n'ez'okuweeramu empeera yaabwe abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu, n'abatya erinnya lyo, abato n'abakulu; n'ez'okwonooneramu aboonoona ensi.