Revelation 11:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Ekiggwa kya Katonda eky'omu ggulu ne kiggulwawo, Ssanduuku ye ey'Endagaano ye n'erabika munda mu Kiggwa kye. Ne wasituka ebimyanso, amaloboozi, okubwatuka, musisi, n'omuzira ogw'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Yeekaalu ya Katonda ey'omu ggulu n'ebikkulwa; ne walabika mu Yeekaalu ye essanduuko y'endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essinzizo lya Katonda ery'omu ggulu ne liggulwawo, n'essanduuko ey'endagaano ye n'erabika mu Ssinzizo lye. Ne wabaawo okumyansa, n'amaloboozi, n'okubwatuka, n'okukankana kw'ensi, n'omuzira mungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne yeekaalu ya Katonda ey'omu ggulu n'ebikkulwa; ne walabika mu yeekaalu ye essanduuko y'endagaano ye; ne wabaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi.