Revelation 11:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye oluggya oluli ebweru w'Ekiggwa luleke, tolupima, kubanga lwaweebwa ab'amawanga, bajja kulinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oluggya olw’ebweru lwo tolupima kubanga luweereddwayo eri amawanga, era balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri (42).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oluggya oluli ebweru wa Yeekaalu luleke tolupima, kubanga lwaweebwa ab'amawanga, balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi ana mu ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oluggya oluli ebweru w'Essinzizo lya Katonda luleke, tolupima, kubanga lwaweebwa bantu ab'ensi, abalirinnyirira ekibuga ekitukuvu, okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oluggya oluli ebweru wa yeekaalu luleke ebweru, so tolugera; kubanga lwaweebwa ab'amawanga: n'ekibuga ekitukuvu balikirinnyiririra emyezi amakumi ana mu ebiri.