Revelation 11:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wabaawo ayagala okubakolera obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe ne guwemmenta abalabe baabwe. Buli yenna ayagala okubakolera obubi, wa kufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna agezaako okubakolako akabi azikirizibwe n’omuliro oguva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe; era omuntu yenna bw’ayagala okubakolako akabi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe, era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wabaawo ayagala abo okubakolako akabi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe. Bwe kityo buli ayagala okubakolako akabi, ateekwa okuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe: era omuntu yenna bw'ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa.