Revelation 11:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo balina obuyinza okusiba eggulu enkuba n'etetonnya ennaku zonna ze banaamala nga balangirira; ate balina n'obuyinza obw'okufuula amazzi omusaayi, n'okukuba ensi na buli kibonoobono emirundi gyonna gye baagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balina obuyinza okuggalawo eggulu enkuba n’etetonnya mu nnaku ez’obunnabbi bwabwe, era balina n’obuyinza okufuula amazzi omusaayi n’okuleeta buli kubonaabona kwonna ku nsi buli lwe banaabanga baagadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba eremenga okutonnya mu nnaku ez'okutegeeza kwabwe, era balina obuyinza ku mazzi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonna, emirundi emingi nga bwe baagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba n'etetonnya mu kiseera kye bategeerezaamu abantu ekigambo kya Katonda. Era balina obuyinza ku mazzi, okugafuula omusaayi. Balina n'obuyinza okuleeta ku nsi ebibonyoobonyo ebya buli ngeri buli lwe baagadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo balina obuyinza okusiba eggulu, enkuba eremenga okutonnya mu nnaku ez'okutegeeza kwabwe: era balina obuyinza ku mazzi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonna, emirundi emingi nga bwe baagala.