Revelation 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emirambo gyabwe girisigala awo ku luguudo lw'ekibuga ekikulu, mu kugereesa ekiyitibwa Sodoma oba Misiri, eyo ne Mukama waabwe gye yakomererwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z’ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z'ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomererwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z'ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba. Erinnya ly'ekibuga ekyo ery'olugero ye Sodoma oba Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulambo gwabwe guli mu luguudo lw'ekibuga ekinene, ekiyitibwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomererwa.