Revelation 11:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okumala ennaku ssatu n'ekitundu abantu okuva mu mawanga, ebika, ennimi n'ensi balyerolera emirambo gyabwe, era emirambo egyo tebaligiganya kuziikibwa mu ntaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era okumala ennaku ssatu n’ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu n’ebika, n’ennimi, n’amawanga mu nguudo z’ekibuga. Tewali n’omu alikkirizibwa kubaziika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era okumala ennaku ssatu n'ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu n'ebika n'ennimi n'amawanga mu nguudo z'ekibuga, era emirambo gyabwe tegirikkirizibwa kuziikibwa mu ntaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu aba buli ngeri, n'ab'ebika byonna, n'ab'ennimi zonna, n'ab'amawanga gonna, balitunuulira emirambo gyabwe, okumala ennaku ssatu n'ekitundu, ne batagikkiriza kuziikibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ab'omu bantu n'ebika n'ennimi n'amawanga baalabira omulambo gwabwe ennaku ssatu n'ekitundu, ne bataganya mirambo gyabwe okuziikibwa mu ntaana.