Revelation 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ggulu ne mpulirayo eddoboozi ery'omwanguka nga ligamba nti: “Kati obulokofu butuuse, ko n'obuyinza, n'obufuzi bwa Katonda n'obufuzi bwa Kristu we, anti eyakonjeranga baganda baffe ewa Katonda ekiro n'emisana, akasukiddwa wansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka mu ggulu nga ligamba nti, “Kaakano obulokozi bwa Katonda, n’amaanyi ge n’obwakabaka bwa Katonda waffe awamu n’obuyinza bwa Kristo we bizze. Kubanga omuloopi eyaloopanga baganda baffe, eri Katonda waffe emisana n’ekiro, agobeddwa mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira eddoboozi ddene mu ggulu, nga lyogera nti, “Kaakano obulokozi n'amaanyi n'obwakabaka bwa Katonda waffe, n'obuyinza bwa Kristo we buzze: kubanga aloopa baganda baffe, eri Katonda waffe emisana n'ekiro asuuliddwa wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mpulira mu ggulu eddoboozi ery'omwanguka, erigamba nti: “Kaakano Katonda waffe atulokodde. Alaze amaanyi ge, n'obwakabaka bwe, n'obuyinza bwa Kristo we, kubanga oyo alonkoma baganda baffe, n'abaloopa emisana n'ekiro mu maaso ga Katonda waffe, agobeddwa mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira eddoboozi ddene mu ggulu, nga lyogera nti Kaakano obulokozi buzze n'amaanyi n'obwakabaka bwa Katonda waffe, n'obuyinza bwa Kristo we: kubanga aloopa baganda baffe yasuulibwa, abaloopa mu maaso ga Katonda waffe emisana n'ekiro.