Revelation 12:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamuwangudde n'omusaayi gw'Akaliga n'olw'ekigambo kye baajulira, kubanga obulamu bwabwe tebaabufaako n'okutuukira ddala okufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuwangula olw’omusaayi gw’Omwana gw’Endiga, n’olw’ekigambo eky’obujulirwa bwabwe, ne bawaayo obulamu bwabwe nga tebatya na kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'endiga, n'olw'ekigambo eky'obujulirwa bwabwe, ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda baffe baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'Endiga, n'olw'amazima, ge baategeeza abantu, ne bawaayo obulamu bwabwe okutuuka ne ku kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'endiga, n'olw'ekigambo eky'okutegeeza kwabwe; ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa.