Revelation 12:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, abuuke alage mu ddungu, mu kifo kye gy'ajja okulabiririrwa okumala ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera nga ssessota tamulabako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukazi n’aweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ng’eby’empungu okubuuka agende mu ddungu mu kifo ekyamuteekerwateekerwa, gy’alabiririrwa era gy’akuumibwa, ogusota ne gutamukola kabi okumala ekiseera n’ekitundu ky’ekiseera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri ebinene ng'eby'empungu okubuuka okuva eri Ogusota okugenda mu ddungu mu kifo kye, gy'analiisizibwa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke atuuke mu kifo kye mu ddungu, gy'alirabirirwa okumala emyaka esatu n'ekitundu ng'ogusota tegumutuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi n'aweebwa ebiwaawaatiro bibiri eby'empungu ennene, alyoke abuuke okutuuka mu ddungu mu kifo kye, gy'aliisizibwa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera, mu maaso g'omusota.