Revelation 12:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusota ne gusesema mu kamwa kaagwo amazzi kyenkana mugga mulamba gawondere omukazi, gumutwalire mu mugga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogusota ne guwandula amazzi mangi okuva mu kamwa kaagwo ne ganjaala ne gafuuka omugga nga galaga omukazi gye yali, nga gafuba okumuzikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omusota ne guwandula okuva mu kamwa kaagwo amazzi mangi nga ag'omugga, gagoberere omukazi gamutwale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusota ne guwandula amazzi okuva mu kamwa kaagwo, nga gali ng'omugga, ne gagoberera omukazi, gamukulugguse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omusota ne guwandula okuva mu kamwa kaagwo ennyuma w'omukazi amazzi ng'omugga, gulyoke gumutwaze omugga.