Revelation 12:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ettaka ne liyamba omukazi, ne lyasamya akamwa kaalyo, ne limira omugga ssessota gwe yali afumbukudde mu kamwa ke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ettaka ne liyamba omukazi bwe lyayasama ne limira omugga ogwo ogwayanjaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi n'eyamba omukazi, ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ennywa omugga ogusota gwe gwawandula okuva mu kamwa kaagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ensi n'eyamba omukazi: n'eyasamya akamwa kaayo, n'emira omugga ogwava mu kamwa k'ogusota.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi n'eyamba omukazi, ensi n'eyasama akamwa kaayo, n’enywa omugga ogusota gwe gwawandula okuva mu kamwa kaagwo.