Revelation 12:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era mu ggulu ne walabikayo akabonero akalala: Ssessota omunene owa kawemba ng'alina emitwe musanvu n'amayembe kkumi, ku buli mutwe nga kuliko omuge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne walabika akabonero akalala mu ggulu, era, laba, ogusota ogumyufu ogunene, ogulina emitwe omusanvu n'amayembe kkumi, ne ku mitwe gyagwo engule musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyewuunyisa ekirala ne kirabika ku ggulu: ne wabaawo ogusota ogunene ogumyufu, nga gulina emitwe musanvu, n'amayembe kkumi, nga ku buli mutwe kuliko engule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne walabika akabonero akalala mu ggulu; era, laba, ogusota ogumyufu ogunene, ogulina emitwe omusanvu n'amayembe kkumi, ne ku mitwe gyagwo engule musanvu.