Revelation 12:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akawuuwo nga kawalula ekitundu ekyokusatu eky'emmunyeenye ez'omu ggulu; ne kazikuba ku nsi. Ssessota oyo n'ayimirira mu maaso g'omukazi eyali okumpi okuzaala, alye omwana omukazi olunaamala okumuzaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omukira gwagwo ne guwalula ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye ez'omu ggulu, ne guzisuula ku nsi. Ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi, eyali agenda okuzaala, bw'alizaala, gulyoke guliire ddala omwana we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukira gwagwo ne guwalula ekitundu ekimu ekyokusatu eky'emmunyeenye ez'oku ggulu, ne gukisuula ku nsi. Ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi eyali okumpi okuzaala, gulyoke gumire omwana we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omukira gwagwo ne guwalula ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye ez'omu ggulu, ne guzisuula ku nsi: ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi, eyali agenda okuzaala, bw'alizaala, gulyoke guliire ddala omwana we.