Revelation 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi n'azaala omwana wa bulenzi, nga ye w'okufuga amawanga gonna ne ddamula ow'ekyuma; ye omwana we n'asitulibwa n'atwalibwa ewa Katonda ku nnamulondo ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi n’azaala omwana owoobulenzi eyali agenda okufuga amawanga gonna n’omuggo ogw’ekyuma, amangwago n’akwakulibwa n’atwalibwa eri Katonda ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi n'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna n'omuggo ogw'ekyuma, n'omwana we n'akwakulibwa n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi n'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna, ng'akozesa omuggo ogw'ekyuma. Kyokka omwana we n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azaala omwana ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna n'omuggo ogw'ekyuma: n'omwana we n'akwakulibwa n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka.