Revelation 12:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssessota omunene n'akanyugibwa wansi, y'oyo omusota ogw'edda oguyitibwa Omuloopi oba Sitaani, eyalimbalimba ensi yonna; yakanyugibwa wansi, ne bamalayika be ne bakanyugibwa wamu naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogusota ogwo ogw’amaanyi, era gwe gusota ogw’edda oguyitibwa Setaani Omulimba, alimba ensi yonna, ne gusuulibwa wansi ku nsi n’eggye lyagwo lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ogusota ogwo ogunene, gwe musota ogw'edda oguyitibwa Omubi era Sitaani alimbalimba ensi zonna, ne gusuulibwa ku nsi, awamu ne bamalayika baagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.