Revelation 13:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba ekisolo; kyali kifubutuka mu nnyanja; kyalina amayembe kkumi n'emitwe musanvu, nga ku buli jjembe kuliko omuge, ate ku mitwe nga kuliko amannya g'ebivumo ebivuma Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ogusota ne guyimirira ku musenyu gw'ennyanja. Ne ndaba ekisolo nga kiva mu nnyanja, nga kirina amayembe kkumi n'emitwe musanvu, ne ku mayembe gaakyo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyakyo amannya ag'obuvvoozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba ekisolo nga kiva mu nnyanja. Kyalina amayembe kkumi n'emitwe musanvu. Kyalina engule ku buli jjembe, ne ku mitwe gyakyo nga kuliko amannya agavvoola Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne guyimirira ku musenyu gw'ennyanja. Ne ndaba ensolo ng'eva mu nnyanja, erina amayembe kkumi n'emitwe musanvu, ne ku mayembe gaayo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo amannya ag'obuvvoozi.