Revelation 13:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ow'okutwalibwa mu busibe, agende mu busibe; atta n'ekitala, naye wa kuttibwa na kitala. Wano abatuukirivu we basabirwa okulaga obugumiikiriza n'okukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli ow’okutwalibwa mu busibe wa kusiba. Era buli ow’okuttibwa n’ekitala, wa kuttibwa na kitala. Kubanga awo okugumiikiriza n’okukkiriza kw’abatukuvu we kutegeererwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna bwaba nga wa kunyagibwa, wakutwalibwa; Omuntu yenna bw'atta n'ekitala, wa kuttibwa na kitala. Awo we wali okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abatukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli eyategekerwa okutwalibwa mu busibe, wa kusiba. Buli eyategekerwa okuttibwa n'ekitala, wa kufa kitala. Awo okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abantu ba Katonda we kutegeererwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna bw'ayagala okunyaga, anyagibwa: omuntu yenna bw'atta n'ekitala, kimugwanira naye okuttibwa n'ekitala. Awo we wali okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abatukuvu.