Revelation 13:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne ndaba ekisolo ekirala nga kifubutuka mu ttaka; kyalina amayembe abiri ng'akaliga, ate nga kyogera nga ssessota.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndyoka ndaba ekisolo ekikambwe ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agali ng’ag’akaliga akato naye ng’eddoboozi lyakyo liri ng’ery’ogusota.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba ekisolo ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agafaanana ng'ag'omwana gw'endiga, nga kyogera ng'ogusota.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba ekisolo ekirala nga kiva mu ttaka. Kyalina amayembe abiri ng'ag'omwana gw'endiga, era nga kyogera ng'ogusota.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba ensolo endala ng'eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng'ag'omwana gw'endiga, n'eyogera ng'ogusota.