Revelation 13:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne kiraga obuyinza bwonna obw'ekisolo ekyasooka mu maaso gaakyo, ne kireetera ensi n'abagibeeramu okusinza ekisolo kiri ekyalina olubale olwali kata lukitte naye ne luwona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisolo ekyo ne kikozesa obuyinza obwa kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyawonyezebwa era ekyasinzibwa ensi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekikozesa obuyinza bwonna obwe kisolo kiri ekyasooka mu maaso gaakyo. N'ekisinzisa ensi n'abatuulamu ekisolo ekyasooka ekyalina ekiwundu eky'okufa ekyawonyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kikozesa obuyinza bwonna obw'ekisolo ekyasooka, nga n'ekyo kyennyini ekyasooka kiraba. Ne kiwaliriza ensi n'abagirimu, basinze ekisolo ekyasooka, ekyawona ekiwundu ekyali ekyokukitta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekoza obuyinza bwonna obw'ensolo ey'olubereberye mu maaso gaayo. N'esinzisa ensi n'abatuulamu ensolo ey'olubereberye, eyawona ekiwundu eky'okufa.