Revelation 13:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne kiwubisa abali mu nsi n'obubonero obunene bwe kyali kiweereddwa okukola mu maaso g'ekisolo; ne kibalagira okukola ekifaananyi ky'ekisolo ekyali kifunye olubale lw'ekitala naye ne kirama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya ly’ekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu ab’oku nsi okukola ekifaananyi eky’ekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu eky’ekitala ekyawona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekirimba abatuula ku nsi olw'obubonero bwe kyaweebwa okukola mu maaso g'ekisolo; ne kigamba abatuula ku nsi, okukola ekifaananyi kye kisolo kiri ekyafumitibwa ekitala naye ne kitafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kirimbalimba abantu abali ku nsi, nga kikozesa ebyewuunyo bye kyakkirizibwa okukolera mu maaso g'ekisolo ekyasooka. Ne kibalagira okukola ekifaananyi ky'ekisolo ekyo ekyafumitibwa ekitala naye ne kisigala nga kiramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'erimba abatuula ku nsi olw'obubonero bwe yaweebwa okukola mu maaso g'ensolo; ng'egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky'ekitala n'eba nnamu.