Revelation 13:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne kiweebwa obuyinza okussiza omukka mu kifaananyi ky'ekisolo, ekifaananyi ky'ekisolo kyogere, kireetere bonna abagaana okusinza ekifaananyi ky'ekisolo okuttibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogw’obulamu mu kifaananyi ky’ekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekisolo ekyo n'ekiweebwa okufuuwa omukka mu kifaananyi eky'ekisolo kiri kyogere, era kittisse bonna abagaana okusinza ekifaananyi kye kisolo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisolo kino ekyokubiri ne kikkirizibwa n'okussa omukka ogw'obulamu mu kifaananyi ekyo eky'ekisolo ekyasooka, ekifaananyi kyogere, era kissise bonna abagaana okukisinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eweebwa okuwa ekifaananyi eky'ensolo okussa omukka, ekifaananyi eky'ensolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi kya nsolo.