Revelation 13:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ne kireetera abantu bonna, abatene n'abanene, abagagga n'abaavu, abaana b'eddembe n'abaddu okulambibwako ku mukono ogwa ddyo ne mu kyenyi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, ab’eddembe n’abaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ekiwaliriza bonna, abato n'abakulu, abagagga n'abaavu, ab'eddembe n'abaddu okuteekebwako akabonero ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna, abato n'abakulu, abagagga n'abaavu, ab'eddembe n'abaddu, ekisolo ne kibawaliriza okuteekebwako akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ewaliriza bonna, abato n'abakulu, n'abagagga n'abaavu, n'ab'eddembe n'abaddu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe;