Revelation 13:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabulewo asobola okugula oba okutunda wabula oyo alina akabonero k'ekisolo oba erinnya lyakyo, oba omuwendo gw'erinnya lyakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga tewali n’omu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero ak’erinnya ly’ekisolo ekyo oba ennamba yaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olwo omuntu yenna aleme okugula oba okutunda, okuggyako ng'amaze okuteekebwako akabonero, lye linnya ly'ekisolo kiri oba omuwendo gw'erinnya lyakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu n'agaanibwa okubaako ky'agula oba ky'atunda, okuggyako ng'amaze okuteekebwako akabonero ako, kwe kugamba, erinnya ly'ekisolo, oba ennamba etegeeza erinnya lyakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era omuntu yenna aleme okuyinza okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly'ensolo oba omuwendo gw'erinnya lyayo.