Revelation 13:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wano weetaagisaawo obulabalaba: oli ategeera abalirire omuwendo gw'ekisolo; omuwendo ogwo gwa muntu; omuwendo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu g’omuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gw’omuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kyetaagisa amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ekisolo; kubanga gwe muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwakyo guli Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kyetaagisa amagezi! Ow'amagezi yeetegereze amakulu g'ennamba y'ekisolo ekyo, kubanga ye nnamba etegeeza erinnya ly'omuntu. Ennamba yaakyo eri lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo we wali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ensolo; kubanga gwe muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwayo Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.