Revelation 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng'engo, ebigere byakyo nga biri ng'eby'eddubu, ate omumwa nga guli ng'ogw'empologoma. Ssessota n'akiwa amaanyi ge, nnamulondo ye n'obuyinza bwe obw'ekitalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng’engo naye ng’ebigere byakyo biri ng’eby’eddubu, kyokka ng’akamwa kaakyo kali ng’ak’empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu n’entebe yaakyo ey’obufuzi era n’obuyinza bungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekisolo ekyo kye nnalaba kyali kifaanana ng'engo, n'ebigere byakyo nga biri ng'eby'eddubu, n'akamwa kaakyo nga kali ng'akamwa k'empologoma. Ogusota ne gukiwa amaanyi gaagwo, n'entebe yaagwo ey'obwakabaka, n'obuyinza bungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng'engo, ebigere byakyo nga biri ng'eby'eddubu, akamwa kaakyo nga kali ng'ak'empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo, n'entebe yaagwo ey'obwakabaka, n'obuyinza bungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensolo gye nnalaba yali efaanana ng'engo, n'ebigere byayo ng'ebya ddubu, n'akamwa kaayo ng'akamwa k'empologoma: n'ogusota gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n'entebe yaayo ey'obwakabaka, n'obuyinza obungi.