Revelation 13:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogumu ku mitwe gyakyo gwaliko olubale olwali kata lukitte, naye olubale olwali kata lukitte nga luwonye; ensi yonna yali egoberera ekisolo nga yeewuunya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyakyo nga gufumitiddwa ekiwundu eky'okufa, n'ekiwundu eky'okufa ne kiwona. Ensi zonna ne zigoberera ekisolo ekyo nga zeewuunya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ogumu ku mitwe gy'ekisolo gwali gulabika ng'ogufumitiddwa ekiwundu eky'okugutta. Naye ekiwundu ekyo eky'okugutta, ne kiwona. Ensi zonna ne zisigala nga zeewuunya ekisolo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa okufa; n'ekiwundu eky'okufa ne kiwona: n'ensi zonna ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya;