Revelation 13:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basinza ssessota kubanga yali awadde ekisolo obuyinza, ne basinza n'ekisolo nga bagamba nti: “Ani yenkana ekisolo? Ye ani anaasobola okulwana nakyo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basinza ogusota olw’okuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era n’ekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basinza ogusota, kubanga gwawa ekisolo obuyinza bwagwo, ne kisolo ne bakisinza nga boogera nti, “Ani aliŋŋaanga ekisolo? Era ani ayinza okulwana nakyo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne basinza ogusota, kubanga gwawa ekisolo obuyinza bwagwo. N'ekisolo ne bakisinza, nga bwe bagamba nti: “Ani yenkana ekisolo kino, era ani ayinza okulwana nakyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne basinza ogusota, kubanga gwawa ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga boogera nti Ani afaanana ng'ensolo? era ani ayinza okulwana nayo?